Ab’amazina n’eηηoma eηηanda nga baaniriza abantu b’Omutanda abazze ku lutikko e Lubaga okumujaguza amazaalibwa ge ag’omuluindi ogwe 70Ssaabasumba Paul Ssemogerere akulembeddemu okusaba ku mazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II age 70 mu lutikko e LubagaAbasirikale ba Paapa mu lutikko e Lubaga mu kukuza amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi owokubiri ag’emyaka 70Omulangira David Kintu Wasajja ng’asoma essomo ku mazaalibwa ga Kabaka Mutebi@70Ssaabasumba Paul Ssemogerere ng’akwasa Katikkiro Charles Peter Mayiga ebirabo by’amazaalibwa ga Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II age 70Ssaabasajja Ronald Muwenda Mutebi II naye asiimye n’atonera eklezia oluggi lwa Wankaaki olugenda okussibwa ku nnyumba y’abasasorodooti ezimbibwa e LubagaNnaabagereka Sylivia Nagginda ne Nnaalinnya Lubuga Agnes Nnabaloga ku mazaalibwa ga Kabaka age 70Abamyuka ba Katikkiro wa Buganda, asooka; Owek. Twaha Kawaase Kigongo n’owokubiri Owek. Robert Waggwa Nsibirwa n’omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Owek. Luwaga MugumbuleSsenkulu wa CBS FM Omuk.Michael Kawooya Mwebe (ku ddyo) n’akulira eby’emirimu Omuk.Robert Kasozi, mu kusaba kw’okujaguza amazaalibwa ga Kabaka age 70 mu lutikko e LubagaAmazaalibwa ga Kabaka age 70 gakuziddwa ku lunalu lwe lumu olwa Matabi 2025
Katikkiro, Nnaalinnya Lubuga Agnes Nnabaloga n’abebitiibwa abalala nga batuuka mu kusaba kw’amazaalibwa ga Kabaka @70
President wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu n’eyali omumyukawe mu Buganda era Commissioner wa Parliament Mathias Mpuuga Nsamba nga bawayaamu ku mikolo gy’amazaalibwa ga Kabaka age 70, oluvannyuma lw’ebbanga nga basoowaganye. Katikkiro abawadde amagezi nti bombi baana ba Nnambi , ekifaananyi kyebalaze ku mazaalibwa ga Ssaabasajja kigende mu maasoSsaabawandiisi wa NUP David Lewis Lubongoya ng’alamusa ku commissioner wa Parliament era omubaka wa Nyendo Mukungwe Mathias Mpuuga
Keeki esaliddwa Nnabagereka Sylivia Nagginda ku lw’Empologoma ya Buganda, yawundiddwa mu bintu ebyanjawulo, omuli Enguugu ya Kabaka, ekyambalo kye, Entawetwa, Twekobe ne Mujaguzo
Abantu mu weema ezaasimbiddwa okwetoloola Lutikko era ng’emikolo babadde bajigoberera butereevu ku ntiimbe za TV.