Ministry y’ebyentambula n’enguudo ebaze enteekateeka, ministry eno gyegenda okwesigamako okweddiza obuvunaanyizibwa bw’ebitongole okuli ekivunaanyizibwa ku nguudo ki Uganda National Roads Authority n’ekitongole ekivunaanyizibwa ku nsimbi eziddaabiriza n’okulabirira enguudo ki Uganda Road Fund.
Parliament yasalawo ebitongole bino bigattibwe, mu lutuula lwayo olwaliko n’ababaka okwekuba ebikonde.
Minister w’ebyentambula n’enguudo Gen Edward Katumba Wamala mu kiwandiiko kyafulumizza anyonyodde nti enteekateeka ebagiddwa, ministry gyegenda okutambulirako okweddiza ebitongole bino, yakutandika okukola oluvanyuma lw’omukulembeze w’eggwanga okussa omukono ku mabago gamateeka agagyawo ebitongole ebyo byombi.
General Edward Katumba Wamala agambye nti mu kiseera kino, emirimu gy’ebitongole bino byombi UNRA ne Uganda Road gyakusigala nga gitambula bukwaku, contracts ezigenda mu maaso zakusigala nga ziteekebwa mu nkola okutuusa nga omukulembeze weggwanga atadde omukono ku mateeka gombi agaggyawo ebitongole bino.
General Katumba Wamala awabudde ba kontulakita n’abantu abalala abalina emirimu n’ebitongole ebyo, basigale nga bakolagana nabakulu mu bitongole ebyo nga bwebabadde bakola, wabula abo abalina okwebuuza okusingawo batuukirire omuteesiteesi omukulu mu ministry yebyentambula nenguudo okumanyisibwa ebisingawo.
UNRA okugyibwawo kijjira mu kiseera nga waliwo bannansi ababanja ebyapa byabwe byebaawa ekitongole kino okusalako ebitundu UNRA byeyagula okuzimbako enguudo, nga ebyapa bino bikunukkiriza mu 8000.
Alipoota envanyuma eyakolebwa akakiko ka parliament aka Cosase, yalaga nti UNRA ebyaapa bino emaze nabyo emyaka egikunukkiriza mu 10.
Godfrey Kayemba Ssolo memba ku kakiiko ka Cosase alabudde nti singa ministry y’ebyentambula tebeera nambulukufu ku ngeri bannansi gyebalina okufunamu ebyapa byabwe singa UNRA evaawo nga bwekyayisibwa, bannansi boolekedde okufiirwa ebyaapa byaabwe kubanga ebyaapa byandigwa mu ngalo zababbi, nebatwaala ettaka ly’abantu.
Ekitongole ki UNRA okugenda wansi wa ministry yebyentambula kulyaaliko enkalu naddala ku mutemwa gwensimbi ogulina okusasula abakozi abagenda okufiirwa emirimu.
Ekitongole ki UNRA kinnajjukirwa nti kyalaalika dda nti kyetaaga ensimbi obuwumbi 190 okusasula abakozi baakyo abagenda okufiirwa emirimu songa yo government egamba nti obuwumbi 46 bweyateekateeka okusaasaanya okusasula abakozi abo.#