Ministry ye Kampala eyimirizza enteekateeka zo kuteekawo stage za boda boda wamu nokukyusa ebyentambula zo lukale mu Kampala okutuusa omwaka ogujja.
Olukiiko lwa cabinet mu mwezi gwa May omwaka guno, lwayisa enteekateeka ezenjawulo ezokulongosa entambula yo lukale mu Kampala ne mirirano naddala okutangira okusaasaanya ekirwadde kya COVID 19.
Mu bukwakulizo obwateekebwawo mu kulongosa entambula yo lukale, mwemwali ekyokuteekawo stage za boda boda entongole ezimanyiddwa ekitongole kya KCCA wamu na bavuzi ba taxi okwewandisa mu Ministry ye bye ntambula ne mu kitongole kya KCCA.
Wabula Minisiter omubeezi avunaanyizibwa ku nsonga za Kampala, Benny Bugembe Namugwanya agamba nti Ministry ye emaze okubaga ebbago lye tteeka (statutory instrument) erigenda okugobererwa mu kuteekesa mu nkola enteekateeka yo kulongosa entambula ey’olukale mu Kampala.
Benny Bugembe ategezzezza CBS nti ebbago lino baaliwerezza eri Attoney General wa Gavumenti ayongere okulitunulamu, n’oluvanyuma liyisibwe mu lukiiko lwa cabinet nga omwaka guno tegunagwako.
Wabula, kino kitabudde abaddukanya emirimu gya taxi mu Kampala.
Akulira ekibiina kya bavuzi ba taxi ne ba conductor ekya UTRADA, Mustafa Mayambala yewuunyiza engeri Ministry ye Kampala gyekolamu etteeka empya nga tebamazze kubeebuzaako.