Munnakibiina ki National unity Platform eyaweebwa Kaadi okwesimba ku kifo ky’omubaka wa parliament akiikirire Busiro East,Mathias Mulumba Walukagga agobeddwa mu lwokaano lw’okuvuganya ku kifo kino.
Mu nsala eweereddwa ssentebbe w’akakiiko k’ebyokulonda Omulamuzi Simon Mugenyi Byabakama, evudde ku musango ogwawaabwa omu ku balonzi mu kitundu kya Busiro East, ng’agamba nti Mathias Mulumba Walukagga talina bisaanyizo byabuyigirize obwessalira.
Akakiiiko k’ebyokulonda kagambye nti ekiwandiiko Mathias Mulumba Walukagga kyeyakozesa okwewandiisa n’okusunsulwa eri akakiiko kebyokulonda ekimanyiddwa nga Certificate of Equivalent kyali kyayitako ekiseera, nga tekimuwa nkizo kwewandiisa kuvuganya ku kifo ky’omubaka bwa parliament.
Bwekatyo akakiiko k’ebyokulonda kagobye Mathias Mulumba Walukagga mulwokaano luno.
Ensala eno, akakiiko kebyokulonda kagiweerezza eri Mathias Mulumba Walukagga nebannamateeka be, aba Alaka and Company Advocates, Nalukoola Advocates and Solicitors ne Returning officer we Wakiso.
Wabula Ssaabawandiisi wa NUP David Lewis Lubongoya agambye nti basazeewo okuddukira mu kooti nga bawakanya eky’akakiiko k’ebyokulonda okugoba Walukagga mu lwokaano, saako abantu babwe abalala 3 abagobeddwa,ng’agamba nti wandibaawo abazannya eby’obufuzi mu nsonga zino.













