Essaza Butambala lironze Richard Malinga nga omutendesi omuggya mu kwetegekera empaka za Masaza ga Buganda ez’omupiira ogw’ebigere ez’omwaka guno 2025.
Richard Malinga mu mpaka za Masaza, abadde yakatendeka essaza limu lyokka erya Mawokota, gye yawereza okumala emyaka 5 egy’omuddiriηanwa.
Richard Malinga agenze okulondebwa ng’omutendesi wa Butambala, nga mu kiseera kino ye mutendesi wa Buddo SS.
Ku ssaza Butambala agenda kudda mu bigere bya Mustafah Kayinda eyaliwo season ewedde, era Butambala teyava mu kibinja.
Richard Malinga era yaliko omutendesi ku ssomero lya Amus College e Bukedea, wabula nga omulimu gw’obutendesi yatandikira mu club ya KCCA eya Uganda Premier League nga omutendesi owa baana abato, ate era nga yazannyirako club eno.
Butambala tewangulangako ku mpaka za Masaza ga Buganda, nga kye yali ekoze ekinene kwe kutuuka ku mutendera gwa quarterfinal mu 2019, 2016 ne 2015.
Empaka za Masaza ga Buganda zisuubirwa okutandika nga 21 June,2025.
Buddu be bannantamegwa b’empaka ezasembayo eza 2024 mwe bakubira Kyaggwe goolo 1-0 mu kisaawe e Namboole.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe