Bannamateeka 41 nga bakulembeddwaamu Lord Mayor Ssaalongo Erias Lukwago bebeesowoddewo okuwolereza Dr Kiiza Besigye ne munne Obed Lutale Kamulegeya mu kkooti y’Amagye e Makindye ku misango egibavunaanibwa egy’okusangibwa n’e mmundu n’okugezaako okutabangula eggwanga.
Wabaddewo obunkenke ku kkooti nga bannamagye basunsula bannamateeka okuyingira munda , era basomye linnya ku linnya nga buli gwebasoma yayingira okutuusa bonna 41 lwebaweddeyo.
Kkooti y’Amagye ejjudde nekubako nga kiviiridde n’abamu okulekebwa wabweru, era kiwaliriza n’abasirikale okuyingiza obutebe obulala munda abantu basobole okufuna webatuula.
Dr Kiiza Besigye ne munne Hajji Obeid Lutale batuusiddwa ku kkooti ku ssaawa bbiri n’eddakiika 50.
Dr Kiiza Besigye ne munne baawambibwa mu Kenya nebazzibwa okwaboobwe, nga bavunaanibwa okusangibwa n’emmundu.
Katemba abadde munda mu kkooti bannamateeka bwebagaanyi okutuula nga bagamba nti ebifo tebimala era kabadde kaseera kazibu okubakkakanya.
Abamu ku bazze okuwuliriza omusango gwa Dr Besigye ne munne Haj Obeid Lutale kuliko General Mugisha Muntu, akulira oludda oluvuganya government Joel Ssenyonyi, Kkamisona wa Parliament era omubaka wa Nyendo Mukungwe owek Mathias Mpuuga Nsamba, abakulirako oludda oluvuganya Winnie Kiiza ne Betty Awol Ochan.
Abalala ye ssentebe wa FDC e Katonga Wasswa Biriggwa, omubaka wa Kira municipality Ibrahim Ssemuju Nganda, amyuuka Lord Mayor Doreen Nyanjula, eyavuganyaako kubwa President Samuel Walter Lubega Mukaaku, Ingrid Turinawe n’abalala.
Byo ebyokwerinda binywezeddwa byansusso okuviira ddala ku kkubo erikutuusa ku kkooti y’Amagye okutuuka munda mu kkooti.
Lord Mayor munnamateeka Ssalongo Erias Lukwago alemeddeko nategeeza kooti nti munnamateeka Martha Karua munnakenya nti yalina okubalemberamu.
Bisakiddwa: Ssendegeya Mohammed