Makerere University mu ngeri ey’enjawulo esiimye Prof. Leif Abrahamsson, Hon. Betty Bigombe n’Omulamuzi Justice Frederick Egonda-Ntende, ebawadde degree ez’ekitiibwa okuli Honorary Doctor of Science ne Honorary Doctor of Laws okubasiima olw’emirimu gyebakoze mu buweereza obw’enjawulo.
Abakenkufu bano basiimiddwa ku matikkira ga University eno ag’omulundi ogwe 74, abayizi abawera 12,300 kwebagenda okutikkirwa, ku mukolo ogugenda okumala enzingu 5.
Abasimiddwa abalala kuliko Prof Davis Serwadda ne Prof Philippa Musoke bawerreddwa ebitiibwa n’engule ezenjawulo olwobuwereza bwebamaze nga bali mu kutumbula ebyenjigiriza n’okunonyereza mu university eno.
Abalala kuliko Prof Moses Robert Kamya ne Prof Rodha Wanyeze okuva ku bbanguliro ly’abasawo nga bano basiimiddwa okuba abanonyereza era abafulumizza ebiwandiiko ebyenjawulo ku binonyerezeddwako abaasinze mu ssetendekero e Makerere.
Amyuka ssenkulu wa Makerere, Prof Barnabus Nawangwe, nga yakoze nga ssenkulu wa ssetendekero ono, agambye nti Makerere, yatonzeewo enkola ey’okusiima abanoonyereza abasukulumye ku bannabwe nekigendererwa ekyokutuukiriza ebirooto bya University ebyemyaka 5, ebyokutumbula ebyokunonyereza, makerere nokujifuula university esinga mu by’okunoonyereza mu Africa yonna.
Prof Nawangwe era annyonyodde nti abamu ku basiimiddwa babadde era bayambako mu kuwa amagezi mu sstendekero.
Mu kiseera kino Makerere terina Chancellor olw’ebisanja bya Dr.Suluma abadde Chancellor okugwako mu December w’omwaka oguwedde 2023.