Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abantu okwongera okufa ku bulamu bwabwe nga balya emmere erina ebiriisa ebiyamba omubiri, nÓkwettanira okwebuuza ku basawo babalambike.
Katikkiro abadde mu kuziika Mwannyina Macrina Nakuya Nkonge ku kyalo Kayanja mu gombolola ye Lwankoni mu district ye Kyotera mu Buddu.
ebazizza Omugenzi olwÓkwaagala ennyo okumanya ebifa ku bulamubwe, ekimusobozesezza okuwangaala.
Katikkiro yebazizza Mulangambi John Godfrey Nkonge olwÓkulabirira mukyalawe ebbanga lyonna, nÓkumukuumira mu bufumbo obutukuvu mu ssanyu nÉddembe ,okumala emyaka 59.
Omumyuka asooka owa Katikkiro Owek Dr Prof Hajji Twaha Kawaase ku lwa government ya Ssaabasajja asaasidde nnyo Kamalabyonna olwÓkuvibwako mwannyina, era naasaba abaana nÁbazzukulu okukuuma ekitiibwa kya Nyaabwe.
Omusumba wÉssaza lye Masaka Sirverus Jjumba yaakulembeddemu ekitambiro kya Mmisa, asabye abantu ba Mukama okukolerera Obulamu obutaggwpawo, nga beeyunira Omukama buli kadde.
Omutaka Namugera Kaketo omukulu wÉkika kyÓmutima Omuyanja yeebazizza Mulangambi olwokufa ennyo ku bulamu bwa Mukyalawe, nÓkufaayo okumujjanjaba.
Mulangambi John Godfrey Nkonge yebazizza bakadde bÓmugenzi abaakola ekisoboka nebaweerera muwala wabwe, era neyeebaza bonna ababadde bajjanjaba mukyalawe.
Okuziika kwetabiddwaako ebikonge mu Bwakabaka, omubadde Abalangira nÁbambejja, ba Nnaalinnya, ba Katikkiro abaawummula, n’ebikonge okuva mu government eyaawakati ,Ababaka ba parliament n’abantu kinoomu.
Bisakiddwa: Kato Denis