
Obwakabaka wamu n’e bitongole ebikuuma ddembe bifulumizza enteekateeka ey’okugoberera ku makubo mu kudduka emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka ag’e 71, agagenda okubaawo ku Sunday nga 12 April,2026.
Akulira Police y’ bidduka mu Kampala n’emirirwano Asp Godwin Arinayitwe ategezezza nti abasirikale bakubeera ku nguudo nga balagiirira abantu ewokuyita, era naalabula abantu obutapaakinga mmotoka zabwe ku makubo wabula bakozese Parking ezitereddwawo kubanga emotoka enasangibwa ku kkubo yakutwalibwa ku Police.
Wakubeerawo Ambulance ku makubo agenjawulo ezigenga okuyambako abantu ba Kabaka abenateba mu misinde .
Akulira eby’okwerinda mu bwa Kabaka bwa Buganda Capt Chris Lutwama ategezezza nti bamalirizza enteekateeka zonna ez’ebyokwerinda mu Lubiri, era ebantu ba Kabaka bakukozesa Gate zonna okuyingira Lubiri era asabye abantu obutayongera kuwandiika kintu kyonna ku Mujoozi era anakikola siwakukkirizibwa kuyingira mu Lubiri.
Amyuka Omwogezi wa Police mu Kampala ne Mirirwano Luke Owesigire ategezezza nti betesetese okukuuma Obutebenkevu mu Misinde, era alabudde abakyala kimpadde okutakemebwa kwetaba mu misinde, era asabye abagenda okutegeka emisinde mu masaza okukwatagana n’ebitongole ebikuuma ddembe bawebwe obukuumi.
Omwogezi w’Obwa Kabaka era Minister w’amawulire mu Bwakabaka Owek. Israel Kitooke alabudde abantu obutajja nga bakwataganye n’ensawo ennyingi mu misinde era alambise enteekateeka nga bwenetambula omuli nolusisira lwe byo bulamu.#












