Omuntu omu afiiriddewo mbulaga nómulala addusiddwa mu ddwaaliro ngátaawa, ekimotoka ekitambuza kasasiro ekibadde kiwenyuka obuweewo bwe kibasaabadde ku luguudo lwé Busaabala Makindye Ssaabagabo, mu kitundu ekiyitibwa Kaliddubi.
Kitegeerekese nti ekimotoka ekyo ngókusinga kibadde kitisse bucupa, kika kya loole Isuzu No.UBP-517P, kibadde ku misinde egya yiriyiri kwe kutomera ababadde ku pikipikio Bodaboda ekika Bajaj Boxer No UGA-208 N.
Omusaabaze ategeerekeseeko erya Musa afiiriddewo ate omugoba waayo addusiddwa mu ddwaaliro ngátaawa.
Abatuuze bategeezezza nti okuva oluguudo lw’e Busaabala bwerwakolebwa obubenje bususse, olwábagoba bébidduka okuvugisa ekimama.
Police yé Kibiri eggyeewo omulambo ne gutwalibwa mu ddwaaliro okwekebeggyebwa, náfunye ebisago náddusibwa mu ddwaaliro.
Bisakiddwa: Ddungu Davis