Akwatidde ekibiina kya National Unity Platform bendera ku bwa president mu kalulu akajja aka 2026 Robert Kyagulanyi Ssentamu Bobi wine alabudde abantu mu Arua okulonda abantu abatagenda kubalyamu nkwe nga bagulibwa government eri mu buyinza nebeefuulira ababalonda.
Kyagulanyi Ssentamu okwogera ku kisaawe kya Barifa Stadium mu Arua gyakubye olukuηaana nategeeza nti ye omulimu gwe ng’omukulembeze agukoze okuzibula bannansi amaaso nti buli kimu kisoboka, nga kati kekaseera nabo bakwatire wamu balonde abantu abanywerera ku nsonga.
Agambye nti Arua kitundu kyansonga gyali era ng’akirinako ebyafaayo bingi, nti kubanga yasimattukirayo okuttibwa ab’ebyokwerinda, wabula dereeva we Yasin Kawuma yaluguamu obulamu.
Kyagunyi agambye nti mwetegefu okuleetawo enkyukakyka mu bukulembeze bwa Uganda obulimu okuwa bannauganda okulonda abakulembeze bebaagala, enfuga egoberera amateeka n’enkulaakulana bannauganda neyagalire munsi yabwe.
Kyagulanyi ajukiza abavubuka nti eby’obufuzi bibakwatako butereevu kubanga kano kekaseera abavubuka okulonda abantu abasaanidde mu bifo eby’obukulembeze.
Kyagulanyi Ssentamu asaanye akaseera akazibu bw’abadde ayingira ekibuga Arua, asoose kulemesebwa bakuuma ddembe abamukiise ebimotoka by’omukka ogubalagala nebamugaana okuyita mu kibuga ,wabula alemedeko emotooka najifuluma naayita mu kibuga ng’atambuza ebigere.
Mu bitundu ebimu omukka ogubalagala gumyose ng’abakuuma ddembe bagaana abantu okumutambulirako, wabula beeremye olwo obudde nebudda ku bunnaabwo.













