Kygulanyi abadde ku kisaawe kye Busuubizi mu district ye Mityana, naagamba nti amakubo, amasomero n’amalwaliro amabi agali mu kitundu geraga lwatu nti kye kiseera abantu baayo balonde ku bakulembeze abalala abanasobola okukyusa embeera yabwe.
Mu nkola etali ya bulijjo, Kyagulanyi yakulembeddemu okusaba ku lukuηaana luno, mwawanjagidde Katonda akome ku bakulembeze abatafa ku bantu balala, era abakome baleme okulinnyirira eddembe ly’abantu.
Ebyo bibadde bigenda mu maaso, nga Police erwanagana n’abawagizi ba NUP mu kitundu kye Bujuuko, gyebigweredde nga 29 bakwatiddwa ku bigambibwa nti babadde baziba oluguudo oluva e Kampala okudda e Mityana ekitaataaganyizza entambula n’emirimu.
Police egamba nti Kyagulanyi yabadde alina kuyita ku luguudo oluva e Kampala okudda e Mitya, wabula naazimuula enteekateeka eyo, naasalawo okukozesa oluguudo lwa Hoima road nagguka e Busunju nalyoka ayolekera Mityana.
Wabula mu katawuni ke Bujjuko abamu ku bawagizi ba NUP gyebabadde bamulindiridde natayitayo, basazeewo okutandika okukuba ebivuga nga bwebeyiwa mu kkubo.
Omwogezi wa police mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango agamba nti police egezezaako okwogera n’abawagizi ba NUP bano, kyokka ne bagaana okweddako era gyebigweredde nga 29 bakwatiddwa.
Bakuumibwa ku police ye Wakiso ng’okunonyereza bwekugenda maaso.
Onyango asabye abawagizi ba NUP nabalala abesimbyewo okugoberera amateeka agabawebwa, nti lwebatajja kusika muguwa na police nga bakola kampeyini zabwe.