Kyaddaaki ekitongole ekikuba mu kyapa ebiwandiiko ebitongole ebya government, ekya Uganda printing and publishing Corporation kifulumizza mu kyapa ebyava mu kalulu k’okuddamu okulonda omubaka wa Kawempe North akaawangulwa munna NUP Erias LuyimbaazI Nalukoola.
Bino webibeereddewo ng’abakulu mu NUP bakasisinkana abakulira akakiiko k’ebyokulonda aka Uganda Electoral Commission nga bebuuza ekibadde kirwisizaawo okukuba omuntu wabwe mu kyapa, kimusobozese okulayira n’okutandika okukiikirira abantu babwe.
Aba Electoral Commission babategeezezza nti wadde babadde balina byebakyanoonyereza ku byaliwo mu kalulu ke Kawempe North, ebyava mu kalulu babadde baamala dda okubiweereza mu kitongole kya government ekirina okubikuba mu kyapa kya government ki The Uganda Gazette.
Olunaku lubadde terunaziba ng’ekyapa kya government ekifulumiziddwa nga 24 March,2025, ebyava mu kalulu ka Kawempe North nga nabyo bissiddwamu.
Okulonda kwaliwo nga 13 March,2025.