Government kyaddaaki etongozza Okukola enguudo okuli Kisubi –Nakawuka-Nateete, Nakawuka – Kasanje –Mpigi, Nakawuka – Mawuugulu-Nanziga-Maya, Kasanje –Buwaya ne Ntebbe- Nakiwogo mu district ye Wakiso.
Enguudo zino nga ziwezaako obuwanvu bwa kilomita 72, zaakukolebwa mu bbanga lya myaka esatu, nga zisuubirwa okugibwako engalo mu mwaka 2027.
Zigenda kuwemmenta obuwumbi bwa shs za Uganda 340 n’Obukadde 578.
Bwabadde atongoza okukola enguudo zino mu Kabuga ke Nakawuka, Ssaabaminister wa Uganda Robina Nabbanja Musafiiri agugumbudde banna Wakiso obutawagira NRM.
Minister w’ebyentambula n’enguudo Gen Edward Katumba Wamala, asabye abakwasiddwa ogw’okukola enguudo zino aba China Communications construction company okuwa abavubuka mu bitundu bino emirimu, kyokka naabalabula ku bubbi n’obutali bweesimbu ku mirimu babyewalire ddala.
Gen Katumba Wamala mungeri yeemu asabye abatuuze abaawaayo ettaka awagenda okuyita enguudo zino okubeera abagumiikiriza, nga government bwekola entegeka z’okubaliyirira.
Omubaka omukyala akiikirira district ye Wakiso Betty Ethel Naluyima, agambye nti ssi waakukkiriza batabika byabufuzi mu nkulaakulana, neyeebaza government olwokujjukira banna Wakiso mu nteekateeka eno.
Ssentebe wa district ye Wakiso Dr Matia Lwanga Bwanika, anenyezza government olw’ okulumya banna Wakiso ebbanga eddene, kyokka naasaba district eno esoosowazibwe okusinga ku ndala, olw’omuwendo gw’abantu gwerina ne sente zeyingiza mu ggwanika ly’eggwanga.
Wadde government esabye abantu abaawaayo ettaka okukkiriza Oluguudo lukolebwe ng’ensimbi bwezigya, abamu ku bannyini ttaka abakuze mu myaka bagamba nti boolekedde okuviiramu awo singa tebaliyirirwa mu budde.
Obuwumbi bwa shs obusoba mu 300 bwebugenda okuliyirirwa bannyini ttaka bonna.
Bisakiddwa: Kato Denis
Ebifaananyi: Ngabo Tonny