Abaali abakozi mu kampuni ya NYTIL nebafumuulwa ku mirimu mu mwaka gwa 1995 nga tebaliyiriddwa basambira mabega nga jjaanzi, bawangudde omusango gwebaawaaba mu kooti e Jinja.
Omulamuzi wa kooti enkulu e Jinja Faridah Bukirwa abadde mumusango guno yalagidde government esasule abantu bano abaludde nga babanja sente zaabwe.
Bukirwa agambye nti ebbanga liweze nga abaali abakozi tebaanukulwa ku nsonga yabwe, kwekulagira government ebasasule obuwumbi bwe nsimbi mukaaga.
Awadde amagezi abaafirwa abantu baabwe nga baali bakozi mu kkolero lino okutereeza empapula nabo babaliyirire.
Nytil yatandikibwawo government y’abafuzi b’amatwale mu 1954 nga kampuni enkozi y’engoye n’emirimu emirala, wabula mu mwaka gwa 1996 government eriko negitunda eri kampuni z’obwannanyini.
Abakozi abaali bakolamu baafiirwa emirimu, era okuva olwo babadde babanja ensimbi z’akasiimo kabwe n’emisoso emirala.#
Bisakiddwa: Kirabira Fred