Obukulembeze bw’obusiraamu obwa Uganda Muslim Supreme council bulagidde bannamateeka babwe kutandika okukola ku mpapula z’okubaliyirira , oluvannyuma lw’okusinga omusango ogwawaabwa abasiraamu 4, abakulemberwamu Hassan Basajjabalaba nga bawakanya obukulembeze obwalondebwa.
Hassan Basajjabalaba ngaali wamu ne banne okuli Sewante Umar, Gule Issa, ne Kigongo Sulaina baakuba mufti Mubajje ne Uganda Muslim Supreme Council mu mbuga za mateeka, nga bawakanya okulonda okwaliwo.
Omulamuzi wa Kooti e Mengo Patrick Talisuna yayisa ekiragiro ekiyimiriza emirimu gyonna ku Uganda Muslim Supreme council okumala ekiseera.
Obukulembeze bwa Mufti Shaban Mubajje nabwo bwasalawo okuddukira mu kooti enkulu nga buwakanya ekiragiro kino, era omulamuzi Esther Nambayo awadde ensalaye ku musango guno, nasazaamu ekiragiro ekyo, ng’agamba nti omusango kwebasinziira okufuna ekiragiro kino abawaaba baali baguggyayo dda mu kooti.
Ssabawandiisi wa Uganda muslim Supreme Council Hajji Ramadhan Mugalu agambye nti bamaze okulagira bannamateeka babwe okubalirira ensimbi Basajjabalaba ne banne zebalina okubaliyirira.
Mufti wa Uganda Sheikh Shaban Ramadhan Mubajje asabye abasiraamu abatali bamativu nabigenda mu maaso mu nzirukanya y’obusiraamu okukozesa amakubo agali mu ssemateeka w’obusiraamu baleme okuwubisibwa n’okuwubisa abalala.#