Kkooti ejulirwamu etudde mu kibuga Jinja etandise okuwulira emisango egiwerera ddala 30 nga gyakuwulirwa okumala ennaku 14.
Amyuka Ssabalamuzi Richard Buteera y’atongoza okuwulira kw’emisango gino, mu maaso g’abalamuzi 3 aba kkooti ejulirwamu.
Abalamuzi bano ; Geofrey Kiryabwire, Muzamiru Kibedi ne Monica Mugenyi bebali mu mitambo gyokuwulira emisango gino.
Ku misango 30 egitandise okuwulirwa kuliko okujulira kwa misango 14 egyobutemu, 13 gya kukabasanya batanetuuka, nga kwotadde omusango gumu ogwokubbisa ebissi nogwokuwamba omuntu.
Bisakiddwa : Mpagi Recoboam