Ssentebe w’abepisikoopi mu ggwanga era nga ye musumba we ssaza lya Kiyinda Mityana Bishop Joseph Anthony Zziwa akyasanguzizza nti waliwo abantu abefuula abagala okuyamba emirimu gye klezia, ate nebasooka okusaba ebyapa bye ttaka lyayo, nti bano bakuluppya bennyini abalina ebigendererwa by’okulinyaga.
”Ekibba ttaka kikudde ejjembe ensangi zino ku ttaka ly’essaza lyonna, olwa bayita mukuwa obuyambi naddala ku masomero, n’amalwaliro ga klezia ate basooka kusaba byapa byago,kikyamu kubanga ettaka eryo kubeerako klezia”.
Bishop Kizza asinzidde ku mukolo gwokujaguza bwegiweze emyaka 40 bukyanga ssaza lino erya Kiyinda Mityana litondebwawo mu mwaka gwa 1981 nga likutulwa ku ssaza ekkulu erya Kampala, Kalidinaali Emmanuel Wamala yeyasooka okulikulembera era emikolo agyetabyeko.
Ebijaguzo by’emyaka 40 biyindidde ku klezia ya St. Noa Mawaggali mu Kiyinda Mityana.
Bishop Anthony Zziwa era asabye ministry yo by’obulamu okukoma ku basawo mu malwaliro agamu abagufudde omugano nga baguza abalwadde omusaayi, so ng’abantu baguwaayo ku bwereere okutaasa abalala. Akubirizza bannaSsingo okujjumbira enteekateeka y’obwakabaka ekulembeddwamu ekitongole kya Kabaka Foundation okugaba omusaayi okutandise mu ssaza eryo.
Ye ssabakristu we krezia ya Kiyinda Mityana era Minisita omubeezi owa gavumenti ez’ebitundu mu Buganda Owekitiibwa Joseph Kawuki asabye abakkiriza okufaayo okukuuma ebituukiddwako essaza lya Kiyinda Mityana mu myaka gino 40, ate n’okwongera okuwagira ebirala.
Omukolo guno gwetabiddwako akuuma entebe ya Ssabasumba wa Kampala era omusumba we Luweero Paul Ssemwogerere, ababaka ba palamenti abatwala ekitundu n’abakulu abalala bangi.
Oluvannyuma Bishop Joseph Anthony Zziwa ng’awerekeddwako abagenyi bonna asimbye omuti ogwekijukizo mu kifo ekyo.
Essaza lino erya Kiyinda Mityana lyakakulemberwa abasumba basatu, eyasooka ye Kalidinaali Emmanuel Wamala okuva nga 17.07.1981 – 21.06.1988. Joseph Mukwaya okuva nga 21.06.1988 – 23.10.2004. Joseph Anthony Zziwa okuva nga 23.10.2004 era yakyalikulembera n’okutuuka kakano.
Essaza lino lizingiramu district ye Mityana, Mubende, Kyankwanzi, Gomba ne Kiboga.