Paapa Francis I avudde mu bulamu bw’ensi ku myaka 88 egy’obukulu, afiiridde mu maka ge e Casa Santa Marta e Vatican.
Agava e Vatican gategeezezza nti Paapa Francis nga ye Paapa wa eklezia katulika owa 266th afudde ku makya ku ssaawa nga emu n’eddakiika 35 ku Easter Monday nga 21 April,2025.
Paapa Francis yazaalibwa nga 17 December, 1936 afudde nga 21 April, 2025, gye myaka 88 egy’obukulu.
Ppaapa Francis ng’amannya ge amabatize n’amazaale ye Jorse Mario Bergoglio, olukiiko lw’Abakalidinaali lwamuloonda okufuuka Paapa nga 13 March,2013, gy’emyaka 12 gy’amaze mu buweereza buno.
Mu mwaka gwa 2023 yatandika okutawanyizibwa ebirwadde nebimukuba ku ndiri, era naweebwa ekitanda mu ddwaliro lya Gemeli Hospital mu kibuga Roma ekya Italy, era gyeyalongoosebwa ekirwadde kya Hernia saako okutawaanyizibwa Lubyamira eyakosa amawuggwe ge.
Okuva olwo mu 2023 azze atawanyiizibwa obulwadde, ekyamuviirako n’okulangirira nti yali ayiinza okulekulira obuvunaanyizibwa buno singa embeera y’obulamu bwe tetereera, nga paapa Benedicto XVI bweyalekulira, wadde nga sikyeyali asiinga okwagala era afudde akyali Ppaapa omujjuvu.
Mu December wa 2025, Paapa Francis era yategeeza nti siinga abeera afudde, nti yali wakuziikibwa mu Eklezia ya St. Maria Major Pauline chapel mu kibuga Roma ekya Italy, wadde nga ba paapa abalala abazze bamuddirira baazikibwa mu eklezia ya St.Peter’s Basillica nayo esangibwa mu Roma.
Ppaapa Leo XIII yeyali yakasembayo emyaka 100 egiyise obutaziikibwa mu St.Peter’s Basilika, ye yaziikibwa mu eklezia ya St.John the Lateran mu Roma.
February 2025: Paapa Francis yazzibwayo mu ddwaliro lya Gemeli hospital ng’atawanyizibwa ekirwadde kya Lubyamira namulemesa okussa obulungi, era yamala ennaku ezisoba mu 10 ng’assiza ku byuma oluvannyuma nagenda ng’atereera mpola mpola.
Mu mbeera etali ya bulijjo, mu March,2025 amawulire okuva e Vatican gaatandika okuweereza obubaka obulaga embeera paapa gy’alimu, omuli okwebaka obulungi ekiro kyonna era nazuukuka bulungi, okulya ku mmere, okusitula omukono okuwuubira ku bantu n’ebirala, nebirala ebyali bigenderera okuzzaamu abakristu essuubi nti embeera ya Paapa yali egenda erongooka.
Omulamwa gw’omwaka guno 2025, Ppaaka yaguwa omulamwa Abalamazi ab’essuubi.
Paapa Francis ng’amannya ge amazaale ye Jorge Mario Bergoglio, munnansi wa Argentina, era y’abadde omwana omukulu, mu baana 5 abaazalibwa bazadde be.
Abadde mukugu mu kutabula chemicals, era nga yakolerako mu kkolero ly’ebyokunoonyereza ku mmere.#