Omuzannyi w’omupiira munnauganda Keziron Kizito, yegasse ku club ya Zesco United egucangira mu liigi ya babinywera eya Zambia.
Keziron wakubacangira endiba okutandika sizoni ejja, ku ndagaano ya myaka ebiri.
Okwegatta ku Zesco United avudde club ya Buildcon era eya Zambia gy’azanyidde sizoni ewedde.
Keziron Kizito agenda kufuuka munayuganda owookusatu okuzannyira club ya Zesco United, omulala ye Umar Kasumba yavaayo mu 2020,ne Davis Kasirye yagizanyira mu 2018.
Keziron Kizito azannyiddeko club eziwera okuli KJT, Vipers ne KCCA wano mu Uganda, AFC Leopards eya Kenya ne Kerala Blasters eya Buyindi.
Sizon ewedde Zesco United yamalira mu kifo kyakubiri.
Club ya Red Arrows munayuganda Yasin Mugabi gy’azannyira yeyawangula ekikopo ekyo nga yabasingako obubonero 6.