Obwakabaka butegeezezza nti Emmwanyi erimwa mu Buganda n’ebitundu bya Uganda ebirala ebadde ettoffaali ddene ku byenfuna bya Uganda, kyokka kyennyamiza Okulaba nga bannabyabufuzi bakulembeddemu okulumya abalimi baazo, nga bayita mu kuggyawo ekitongole ky’Emmwanyi eky’omutindo ki Uganda coffee Development Authority.
Bwabadde asisinkanye abantu ba Kabaka abaleese Oluwalo mu Bulange e Mengo, Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga ategeezezza nti Uganda bwenaaba eyagala okusigala nga evuganya mu katale k’ensi yonna aka Kaawa, tesaanye kugattira Mutindo ku Kaawa wano , okugyako okutwaala Emwaanyi ya Kibooko ku Katale.
Katikkiro agambye nti kaweefube wa EmmwanyiTerimba eyatandikibwa mu 2016 n’ekigendererwa eky’okuggya abantu mu obwavu, ebibala bingi bibadde bitandise okulabwako.
Yennyamidde nti mu kiseera ng’abantu batandise okufuna mu mmwanyi ate bafuna amawulire agabamalamu essuubi ng’okuggibwawo kw’ekitongole ki UCDA, ky’agambye nti kikolaganye nnyo n’Obwakabaka mu kutumbula ekirime kino.
Awaddeeky’okulabirako nti ekitongole kino kyawa abantu ba Buganda endokwa z’emmwanyi obukadde 10, era n’avumirira eky’okuggyawo ekitongole kino.
Katikkiro avumiridde Ebikolwa by’Abakulembeze abasiga Obukyaayi mu Bantu ate nebekwaasa Buganda nti bano benoonyeza byaabwe, naasaba abantu ba Kabaka okubatunuulira enkaliriza.
Minister wa government ez’ebitundu Owek Joseph Kawuki, asabye abantu ba Kabaka mu buli kitundu Kya Buganda okubeera abasaale mu kukuuma ettaka ly’Embuga zonna obutakkirizaako basaatuusi.
Mungeri eyenjawulo neyeebaza abantu ba Ssaabasajja mu gombolola ya Mumyuuka Kayunga, olwobutatiirira Beene.
Obukadde bwa Uganda obusobye mu 53 bwebusondeddwa abantu ba Kabaka okuva mu Masaza okubadde Buddu, Bugerere ne Busiro.
Egombolola ezireese ensimbi zino kubaddeko Ssaabaddu Katabi Obukadde 13.8, Mutuba II Bukulula Obukadde15 , Mukungwe mu Buddu Obukadde 16, ate Mumyuuka Kayunga obukadde 12.
Bisakiddwa: Kato Denis