Obwakabaka bwa Buganda buwadde obweyamo nti bwakuwagira Abasigansimbi abatadde essira ku byobulamu, era nebusaba abalina okwolesebwa okwokusiga ensimbi bakuteeke mu nkola.
Bwabadde asisinkanye munnamakolero Ben Kavuuya era nga musigansimbi mu kisaawe ky’Ebyobulamu okuva mu kampuni ya East African Medical Vitals enkozi y’Ebikozesebwa mu byobulamu, Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti okusiga ensimbi mu byobulamu n’obulimi ly’ekkubo Uganda kwerina okutambulira okukyuusa ekifaananyi kyayo.
Ensisinkano ebadde ku mbuga ya Buganda enkulu Bulange Mengo.
Katikkiro asabye bannansi abalina ensimbi okwongera amaanyi mu kutandiawo amakolero, bayambeko mu kumalawo ebbula ly’Emirimu mu bavubuka, Okulwanyisa endwadde n’okusitula ebyobulimi.
Ben Kavuuya nga yakulembeddemu abaweereza mu kampuni ye okugula emijoozi gya bukadde bwa shs 10, egy’Emisinde gy’Amazaalibwa ga Kabaka , yebazizza Obuwagizi obumuweeredwa Abantu ba Kabaka mu Buganda ne Uganda yonna, ekimuwadde amaanyi okwongera okutambula.
Kavuuya ategeezezza nti Abakozi mu kampuni ye bakwetaba butereevu mu misinde gy’Amazaalibwa ga Ssaabasajja agemyaka 70 nga 6/4/2025 mu Lubiri e Mengo, okulwaanyisa Mukenenya nga Abasajja bebasaale.
Bisakiddwa: Kato Denis