Obwakabaka bwa Buganda busabye abakulira ebitongole byabwo byonna okunyweza enkolagana mu buweereza bwa Ssaabasajja Kabaka, nga biteeka mu nkola okuluηamizibwa kwa ssemunywa okwenjawulo.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti enkolagana ennungi ey’ebitongole bya Buganda yakwongera okussaawo enkulaakulana mu Bwakabaka, nga buli kitongole kiwuliziganya n’okuyambako ekirala mu nkola y’emirimu.
Katikkiro abadde yeetabye mu lukuηaana lwÁbakulira Boodi zÉbitongole byÓbwakabaka ne ba Ssenkulu baabyo ku kitebe kyÉbyobulambuzi mu Bwakabaka ku Butikkiro Mengo.

Abakulira ebitongole bajjukiziddwa okulondoola enkola yÉmirimu mu baweereza baabyo, nÓkubabangula ku mpeereza nénneeyisa, baleme kuttattana mirimu.
Katikkiro mu ngeri eyenjawulo asabye ebitongole bibeere byegendereza nnyo ku nsasaanya yÉnsimbi etali ya buvunaanyibwa, eyiinza okusuula ebitongole.

Ssentebe wa ba ssenkulu bÉbitongole byÓbwakabaka Omuk Rawland Ssebuwuufu ategeezezza Katikkiro nti waliwo ebituukiddwako bingi kwebyo ebyasalibwawo mu lutuula olwÓmwaka ogwayita 2024, naddala ku nsonga y’okusasula emisolo.
Ebirala ebituukiddwaako mu bitongole ebikyali ebito nga ekya Mmwanyi Terimba, kwekutandika okwetengerera.
Bisakiddwa: Kato Denis












