Obwakabaka bwa Buganda bulabudde nti tebugenda kuwa mwagaanya Bayimbi ne bannakatemba abakolerera okuttattana Olulimi Oluganda, nga bayita mu nyimba ne Katemba, nebulabula bonna abakikola nti bakole ebirala.
Bwabadde asisinkanye Omuyimbi Lord Fred Ssebatta mu Bulange e Mengo, Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti awatali kuwa Lulimi Kitiibwa, Ennyimba ne Katemba tebirina gyebitwala ggwanga.
Katikkiro yebazizza Lord Fred Ssebatta olw’Obunyiikivu bwaaolesezza mu kutumbula ekisaawe ky’Okuyimba ennyimba za Kadongo Kamu, Okutumbula Olulimi n’Okwagala ennyo Obwakabaka nateesittaza Bantu mu buwerezaabwe.
Lord Fred Ssebatta yeeyamye okukuuma ekitiibwa ky’Abayimbi ba Kadongo kamu ng’ayiiya ebiyigiriza, nga bwazze akola okuva emabega.
Nga 13.12.2024, Lord Fred Ssebatta lwakujaguza emyaka 42 gyeyakamala ng’ayimba, era nga wakubeera ku Serena Hotel mu Kampala okujaguza n’abawagizi be.#