Katikkiro Charles Peter Mayiga nga kalondoozi omukulu ow’ebitongole by’Obwakabaka bwa Buganda asisinkanye ba Ssenkulu b’ebitongole ne Kkampuni za Buganda n’abalambika ku ntambuza y’emirimu omwaka guno 2025.
Ensisinkano ebadde ku kitebe ky’ekitongole ky’ebyobulambuzi mu Buganda okumpi ne Butikkiro e Mmengo.
Katikkiro abalambululidde ensonga 5 z’agenda okussibwako essira omwaka guno mu ntambuza y’emirimu mu bitongole ne kkampuni za Buganda.
Abalambise ku nkola y’okutambulira mu nkola y’emirimu ennuⴄⴄamu era egoberera amateeka (Governance and Compliance) olwo obuweereza n’emirimu gitambule bukwakku.
Agambye nti Ensonga ezikwata ku baweereza n’abakozi waakuzissaako nnyo essira okutegeera engeri gyebawandiisibwamu, gyebasiibulwamu, obusobozi bwabwe nekyebagatta ku kitongole/kkampuni.
Agambye nti ba ssenkulu kibakakatako okutegeera n’okumanya obulungi abakozi baabwe byebakola n’obusobozi bwabwe, webeetaaga okubangulwa kikolebwe bayambibwe okuggyayo obusobozi bwabwe ate abatalina lugendo basiibulwe.
Katikkiro ategeezezza nti ebitongole ne kkampuni za Buganda biteekeddwa okukola amagoba okuva mu buweereza oba ez’enfissi kizisobozese okusigala mu buweereza n’okuganyula Ssaabasajja nnannyinizo ne Buganda yonna okutwalira awamu.
Mu ngeri yeemu Katikkiro alambise nti ebitongole ne Kampuni bisaana okussaawo enkola y’okukolagana mu buweereze n’okuwagiragana ate n’okukola mu bwetengereze newankubadde birina okussa mu nkola ebyo gavumenti ya Ssaabasajja byerambika mu buweereza bwabyo.
Agambye nti wadde ebitongole bino bikola emirimu mu bwetengereze, nti naye ssibikyetwala era nga birina okutambulira ku nnambika y’Obwakabaka.
Nkola ya Katikkiro buli mwaka okusisinkana ba ssenkulu b’ebitongole ne kkampuni za Buganda okubalambika n’okubawa olupimo lw’enkola y’emirimu.
Abeebazizza okukola n’amaanyi okuweesa ebitongole ne Kampuni za Kabaka ekitiibwa ate n’okuwaayo emitemwa nga bwegirambikwa eggwanika.
Abasabye bulijjo okusoosowaza mukama waabwe mu nkola y’emirimu gyonna nga bassaawo empuliziganya ennungi n’okujjumbira okwetaba mu nteekateeka z’Obwakabaka zonna.
Abasabye okukolagana obulungi ne ba minisita ababatwala n’okubaweerezanga alipoota ku ntambuza y’emirimu buli luvannyuma lw’ebbanga eggere.
Ebitongole ne Kampuni za Buganda bisoba mu 20 nga kuno kuliko, CBS Radio Buganda, BBS Terefayina y’Obwakabaka, Buganda Land Board, Majestic Brads, BUCADEF, BICUL, Muteesa I Royal University, Buganda Royal Institute, Lubiri High School, Lubiri Nnaabagereka P/S, Namulondo Investments, Zambozo SACCO, CBS PEWOSA SACCOs, Mwanyi Terimba LTD, Buganda Heritage and Tourism Board, Weerinde Insurance, Nnaabagereka Development Foundation, Kabaka Foundation n’ebirala.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K