Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga alangiridde nti Omumbejja Diana Balizzamuggale Teyaggala aterekebwa ku Monday nga 22 December, 2025 mu Masiro e Kasubi.
Omumbejja Diana Teyeggala eyabuze muwala wa Sssekabaka Edward Muteesa II era muto wa Kabaka Mutebi II.
Katikkiro agambye nti Omulangira yafa mu kiro ekikyakeesa ku lwomukaaga nga 20 December,2025.
Olukiiko olukola ku nteekateeka zonna lukulemberwa Minisita w’Obuwangwa n’Ennono Owek. Dr. Anthony Wamala,Nnaalinnya Sarah Kagere ku lw’Olulyo lw’Abalangira n’Abambejja – aboomusaayi gw’Omubuze, ba memba abalala ye Owek. David FK Mpanga, Omuwanika w’Enkuluze Omuk. John Kitenda, Katikkiro w’Amasiro g’e Kasubi David Nkalubo n’Omuteesiteesi omukulu mu woofiisi ya Katikkiro Omuk. Josephine Nantege Ssemanda.
Olumbe lw’Omumbejja lujja kukumiddwa e Kasubi mu Masiro.
Wkubaawo okumusabira mu kkanisa ya Church of Uganda e Kasubi, oluvannyuma aterekebwe ku ssaawa 8 mu Masiro e Kasubi.
Gutusinze nnyo ayi Ssaabasajja Kabaka twakuumye bubi, Omumbejja naatubulako!












