Obwakabaka bwa Eswatini bweeyamye okukwasizaako obukulembeze bw’Ennono mu Africa yonna , okutumbula tekinologiya nga bubangula abavubuka abalina endowooza ezenjawulo.
Bwabadde alambuza abakungu mu bukulembeze bw’Ennono obwenjawulo mu Africa, omubadde n’abavudde mu Bwakabaka bwa Buganda, Senzo Malaza nga yaakulira ekifo omwalulirwa tekinologiya mu South Africa ki Royal science and technology Park agambye nti bamativu nti baakufuna abavubuka mu Africa abasobola okukyuusa embeera, bayambeko mu nkulaakulana ya tekinologiya.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yoomu ku balambudde ekifo kino ki Royal Science and technology park ne Songcondvongcondvo mu kibuga Phocweni, nga byatandikibwawo King Mswati III.
Katikkiro asabye abakulira amatendekero mu Bwakabaka okukolagana n’Abaddukanya ebifo omutegekebwa tekinologiya mu South Africa n’Amawanga amalala agaakula, okukwasizaako Uganda okubaako wetuuka mu tekinologiya.#