Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, asabye abakulembeze mu Bwakabaka okulondoola omutindo gyÉbyenjigiriza mu masomero ga Kabaka , kikuumire amasomero gano ku mwanjo mu kisaawe kyÉbyenjigiriza.
Katikkiro akinogaanyizza nti Okuva mu 1875, Ssekabaka Muteesa asooka, lweyawandiikira Abaminsani ebbaluwa ng’abayita okuleeta kuno okusoma, Obwakabaka bwatandika okuteekateeka ensi eno nga buyita mu byenjigiriza, era nga butaddeko ettoffaali ddene.
Bwabadde asisinkanye abakulira essomero lya Lubiri High School, abasomesa nÁbayizi omubadde nÓkuggulawo ekizimbe ekipya abayizi 100 mwebanaakolera Obwooleke , Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yebazizza abaddukanya essomero lino, naabasaba okunyweeza Ekitiibwa kyaalyo nÓbwakabaka.
Katikkiro yeeyanzizza Ssaabasajja Kabaka olwÓkwoolesebwa nazzaawo essomero lya Lubiri High school mu Lubiri, essomero eribangudde abakulembeze abawerako nÓkuteekateeka abaweereza ku mitendera egyenjawulo, mu Bwakabaka ne mu Uganda yonna.
Minister w’Ebyenjigiriza, ebyobulamu era nga yavunaanyizibwa ku yafeesi ya Nnaabagereka Owek Cotilda Nakate Kikomeko, asabye abakulira amasomero g’Obwakabaka gonna okutambulira wansi w’Ennambika ya Namutayiika ey’Omwaka 2023-2028, agendereddwamu okusitula embeera z’Abantu ba Kabaka.
Canon John Fred Kazibwe nga ye Ssentebe w’Olukiiko olufuzi olwa Lubiri High school Mengo, asabye abasomesa okuwa abaana omukisa okutuuka ku buwanguzi bbo bwebataatuukako, nga babawabula ,okubagunjula n’Okubalambika ekimala.
Bisakiddwa: Kato Denis