Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asisinkanye ba ssenkulu b’ebitongole bya Buganda mu nsisinkano yabwe eya buli mwaka, okubalambika ku ntambuza y’emirimu.
Babadde ku kitebe ky’ebyobulambuzi mu Buganda e Mengo.
Abanjulidde enteekateeka ya “Situla Omutindo” Obwakabaka gyebugnda okutambulizaako emirimu, n’okukubiriza abantu ba Buganda okusitula omutindo ku buli kintu kyebakola, mu maka ne ku mirimu.
Katikkiro era abakubirizza okwettanira okukozesa abakozi abalina obukugu n’obumanyirivu mu nkola y’emirimu, kibayambe okusitula enkola y’emirimu, n’okusitula ebitongole ebyo.
Katikkiro ategeezezza nti Buganda eriko wetuuse mu kulwanyisa Obwavu mu bantu ba Kabaka, nga kino kivudde ku kujjumbira eby’obulimi, naddala emmwanyi, ebitooke, entangawuzi n’ebirala.
Ba ssenkulu bakubiriziddwa okukolera emirimu gya Kabaka mu ngeri enteketeeke, omuli okubeera n’Ebiwandiiko ebikwaatana ku nzirukanya y’emirimu, wamu n’Okuwuliziganya obulungi n’ebitongole ebirala mu Bwakabaka.
Mungeri eyenjawulo katikkiro asabye ba ssenkulu obutatya bisomooza, wabula basale amagezi ag’okunyaηηanga.
Ssenkulu wa bassenkulu b’Ebitongole by’Obwakabaka Omuk, Roland Ssebuufu, agambye nti omwaka guno 2026 wegutandikidde nga waliwo bingi ebituukiddwako , era nga mu bikoleddwa mulimu n’okukyusa embeera z’abantu.#










