Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga akubirizza ebittavu by’ensimbi byonna mu Buganda okujjumbira okuwa emisolo gya government eyawakati gyonna nga bwegirambikiddwa, bisole okuddukanya obuweereza bwabyo awatali kutaataganyizibwa.
Asisinkanye ababikulira okwongera okubalambika ku nzirukanya y’emirimu.
Ebittavvu bino kuliko Nsidikanjake Cbs pewosa Saco, Kyadondo cbs pewosa Sacco, Busiro cbs pewosa Sacco ne Buddu Cbs Pewosa Sacco, Ssuubiryo Zambogo Sacco ne Buladde sacco.
Ensisinkano eno ebadde ku ku kitebe kya Nsindijanjake Eyeeterekera E Mengo ku Kabakanjagala road.
Katikkiro atenderezza Radio CBS nÁbagiddukanya olwÓkwoolesebwa nebatandikawo entekateeka yÓbweegassi eya CBS Pewosa, gyagambye nti eyambye nnyo mu kugya abantu mu Bwaavu, nga Ssaabasajja Kabaka bweyalagira.
Asabye abakulira ebittavvu bino okutema empenda z’okubigaziya n’okwongeza ku nnyingiza yaabyo.
Abasabye okutambulira mu bwerufu n’amazima eri abaterekamu ensimbi.
Minister wÉbyobulimi , Obuvubi nÓbweegassi Owek Hajji Hamis Kakomo ategeezezza nti waliwo enteekateeka namutayiika eyÓkubunyisa ebibiina bya CBS PEWOSA mu bitundu bya Buganda, okuggumiza obuweereza bwÓbweegassi.#