Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga alabudde abantu okutambula n’obwegendereza nga bagenda e Namboole, ku mpaka z’akamalirizo ez’amasaza ga Buganda 2024 wakati wa Buddu ne Kyaggwe.
Abagambye nti beewale okuvugibwa abagoba b’ebidduka abanywedde omwenge, obutatuula waggulu ku butanda bw’emmotoka beewale efujjo n’ebigambo ebiwemula, nti naye okusanyuka kwo kubeerewo mu kukuba Engoma, amazina, Vuvuzela, n’emirere.
Olutalo lw’ebigambo wakati w’Ebikonge mu ttiimu z’Amasaza ga Buganda ebbiri ezigenda okuzannya Omupiira gw’akamalirizo e Namboole lukwajja, nga buli luuyi lulabula lunnaalwo.
Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga nga Munna Buddu Kaswa ,asinzidde mu nsisinkano ne bannamawulire mu Mbuga ya Bulange enkulu e Mengo mwategeerezza nti Kyaggwe kikafuuwe tegenda kulaba ku Kikopo kino, era nasaasira abagiwaga.
Katikkiro asabye banna Buddu okukeera ku kisaawe e Namboole nga 2.11.2024, okuweesa olunaku luno ekitiibwa, kyokka naasaba enneeyisa y’Abawagizi naddala ku Nguudo ereme kuba mbi.
Munna Kyaggwe Omumyuka owookubiri wa Katikkiro Owek Robert Wagwa Nsibirwa, ategeezezza nti Bannakyaggwe beetegefu okwambalagana ne Buddu ,kyoka mungeri eyenjawulo abasabye okukeera ku kisaawe e Namboole ,Buddu egende okutuuka nga ekisaawe Kijjudde.
Omupiira gw’Akamalirizo tegunnatandika, wakusookawo omupiira ogwokufunako essaza erinakwaata ekifo ekyokusatu mu mpaka z’Amasaza, nga guno gwakubaawo wakati wa Kyaddondo ne Buweekula.#