Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga awabudde abavubuka okweyazika ku ttaka lya bakadde babwe balyeyambisa okukolerako ebintu ebisobola okubawa entandika bekulaakulanye.
Katikkiro abadde mu Maka g’Omulimi w’Emwaanyi Fred Bulesa mu gombolola ye Malangala mu Ssaza Busujju,gyategeerezza nti Abavubuka abesaasira nga balina ettaka lyabakadde babwe nebatalikolerako ebyabwe bibi.
Katikkiro mu ngeri yeemu bwabadde alambula Capt. Lutwaama Christopher akulira ebyokwerinda mu Bwakabaka, ku kyalo Ngugulo Ssaabaddu Kakindu, amwebaza okubeera Omuyiiya , naasalawo omulimu gw’ okuweereza Kabaka okugwongerako Okulima emmwanyi n’ebirala.

Minister w’Ebyobulimi Obuvubi n’Obweegassi Owek Hajji Amiisi Kakomo, agambye nti olw’Obungi bw’Emwaanyi mu Ssaza Busujju,abantu bongedde okukyuusa embeera z’Ebyenfuna.
Omukulu w’Ekika ky’Engonge Omutaka Kisoro Kaboggoza Mathias naye ng’asinziira ku kyaao Bweza mu Maka ga Ediriisa Kitandwe ne mukyaala we Mariam Nakalumba abebaazizza okussa amaanyi mu kulima, nga y’empagi enkulu etunuuliddwa okukyusa embeera y’abantu ba Buganda.
Omwaami wa Ssaabasajja akulembera essaza Busujju Kasujju Isreal Lubega Maaso yebazizza abantu ba Kabaka olw’obuwulize eri Empologoma.
Ababaka mu Lukiiko lw’eggwanga Olukulu okuli Omukyaala akiikirira Mityana Joyce Baagala Ntwaatwa ne David Lukyamuzi Kalwanga owa Busujju ,bebazizza Obwakabaka olwokuzibula bannansi Amaaso nebabakubiriza okulima Emmwaanyi.
Katikkiro ku lugendo luno alambudde abeegassi aba Kakindu Twegatte Coffee farmers group ku kyalo Mayirye nga bakulemberwa Omulimi Yiga Vincent.
Awerekeddwaako minister w’Amawulire Okukunga abantu era Omwogezi w’Obwakabaka Owek Isreal Kazibwe Kitooke, minister wa cabinet,Olukiiko n’ensonga ez’enkizo Owek Noah Kiyimba,minister wa Bulungibwansi n’Obutondebwensi Owek Mariam Mayanja, Ssentebe wa Boodi ya BUCADEF Omuk Dr. Ben Ssekamatte n’Abalala.
Bisakiddwa: Kato Denis












