Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga ajjukzza bannansi okwaagala nÓkwettanira ennyo okusoma nÓkuwandiika ebyafaayo, kiyambeko emijiji egiriddawo obuteerabira biba bikoleddwa.
Abadde asisinkanye Omulangira Fredrick Walugembe muzzukulu wa Muteesa II mu Bulange Mengo, azze okwanjulira Katikkiro ekitabo kyawandiise ekituumiddwa Patriotism a core principal to National Deveelopment.
Katikkiro yebazizza Omulangira Walugembe okutwala obudde neyefumiitiriza ku nkola ya Mwoyo gwa ggwanga, era naasaba bannansi bakyettanire bakigule.
Katikkiro asabye bannansi okukendeeza Obudde obungi bwebamalira ku ssimu nebateewa budde kusoma bitabo, kyagambye nti kiviiriddeko abantu bangi okukolera ensobi mu butamanya.
Omulangira Edward Fredrick Walugembe , agambye nti ekitabo kino akiwandiise wakati mu bikujjuko byÁmazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka agemyaka 70 egyékitiibwa, nga azze alondoola ebikoleddwa okusitula embeera zÁbantu.
Omulangira Walugembe yebazizza Katikkiro olwÓkunnyikiza enkulaakulana mu bantu ba Buganda, nga atambulira ku kulungamizibwa kwa Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II.
Omulangira Edward Fredrick Walugembe mu Bulange awerekeddwako Abambejja okubadde Nantale Elizabeth Mulondo, Omumbejja Zalwango Agnes, omumbejja Mpologoma Erone ne Nnaava Wandera Rayyan.
Bisakiddwa: Kato Denis