Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga akuutidde abavubuka okugoberera ekiragiro kya Ssaabasajja Kabaka okukomya n’okwewala okulowooleza mu kugenda emitala wa mayanja, naddala mu mawanga ga Buwalabu nga basuubira okukyusizayo obulamu wabula ate nebafunirayo ebizibu.
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II bweyali ku matikkira ge ag’omulundi ogwa 30 yalagira abavubuka okwewala okutwalibwa ku kyeyo, nti kubanga ababatwala tebabaagaliza era benoonyeza bwabwe.
Katikkiro Mayiga agambye nti bwabadde mu Saudi Arabia yasisinkanye Omubaka wa Uganda mu ggwanga eryo Amb. Isaac Ssebulime, n’agamba nti lyerimu ku ggwanga banna Uganda gyebasinze okugenda okukuba ekyeyo kyokka nga bangi babonaaboneddeyo ebitagambika.
Katikkiro agambye nti ensinkano eno yagendereddwamu okwongera okunogera ekizibu kino eddagala.
Katikkiro era agambye nti ensisinkano eno yakuvaamu ebirungi bingi ddala wakati w’obwakabaka bwa Buganda n’obwa Saudi Arabia.
Katikkiro akomyewo okuva mu kibuga Riyadh gyeyetabye mu lukungaana lw’ekibiina kya UNESCO, olwakkirizza okuggya amasiro ge Kasubi ku bifo ebiri mu katyabaga.
Oluvannyuma lw’ekiteeso kino amasiro gakuddamu okusikiriza abalambuzi wano munda mu ggwanga n’ebweru.
Katikkiro agambye nti mu masiro mugenda kussibwamu ekifo eky’enjawulo ewafumbibwa emmere ennansi.
Bisakiddwa: Kaleebu Henry