Abavubuka Abalina obukugu mu bisaawe ebyenjawulo mu Bwakabaka bwa Buganda
ebweru wabwo basabiddwa okubeera abakkakkamu ku mirimu, nÓkukola awatali kwebalira olwo ebiseera byeebwe ebyobukadde bibe bitangaavu.
Ebibalo ebyakasembayo okukolwa ekitongole ky’ebibabo nÉmiwendo ki UBOS, byalaga nti abavubuka baweza ebitundu 75% ku bungi bwÁbantu mu Uganda yonna, era ne mu Buganda ebibalo byalaga nti mulimu abantu abasukka mu bukadde 11,era abavubuka bebasingamu obungi.
Bwabadde asisinkanye abavubuka abalina obukugu obusome ku mukolo ogubadde mu Bulange e Mengo, Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga alabudde abavubuka abegayaaliza ku mirimu nebatakola kyebalina kukola. nti bano bali mu kabi.
Katikkiro aluηamizza abavubuka abakugu mu byebakola, obutalulunkanira kufuna nsimbi za mangu mu buweereza, okwagala okugaggawala amangu nÓkufa ku bulamu bwabwe, kubanga lyÉssuubi lya Buganda eyÉnkya.
Minister wÁbavubuka ebyemiznnyo nÉbitone Owek Ssalongo Robert Sserwanga , asabye abavubuka okubeera abesimbu mu buweereza, kyokka nabajjukiza obutaleka ggwanga kugenda lityo nga teririna bakulembeze bansa.
Dr Ssettabi Iden Michael nga ye Ssentebe wÓlukiiko olutegese ensisinkano eno, agambye nti waliwo obwetaavu bwÓkwongera ku bakugu mu Buweereza mu Bwakabaka bwa Buganda, era naasaba abavubuka abÓbukugu obwenjawulo okutambulira awamu.
Ssentebe wÁbavubuka mu Buganda Ssejjengo Baker, ajjukizza abavubuka okukolerera Obwakabaka bwaabwe, nÓkwettanira okusoma ebitabo.
Bisakiddwa: Kato Denis