Sugar Corporation of Uganda Ltd abakola sukaali wa Lugazi abatwalibwa kampuni ya Mehta group bawezezza emyaka 100 nga baweereza bannayuganda.
Mehta group baddukanya amakolero agawerako okuli, Sugar Corporation of Uganda Ltd erikola sukaali wa Lugazi, Cable corporation Ltd, erikola eby’amasannyalaze, n’essundiro ly’amasannyalaze agava mu bikajjo litongozeddwa.
Ekkolero lya sukaali wa Lugazi lye lyasookera ddala mu Uganda.
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II abayozaayozezza n’asiima obuweereza bwabwe.
Obubaka bw’Omuteregga abutisse Omulangira David Kintu Wasajja ku mukolo gw’okujaguza e Lugazi, Omutanda asiimye Mw. Nanji Kalidas Mehta olw’okwolesebwa kweyafuna okutandika e kkolero lino erifuuse ery’omugaso eri eggwanga.
Nnyinimu Beene Magulunnyondo agambye nti okwolesebwa kuno kuleeseewo enkulaakulana eya nnamaddala mu bantu be Lugazi ne Uganda okutwaliza awamu.
President wa Uganda Gen.Yoweri Kaguta Museven nga yabadde omugenyi omukulu, yeebazizza aba Mehta olw’obutaggwamu ssuubi olwa Pulezidenti Iddi Amin Dada okugoba abayindi mu Uganda 1972, nebalemerako okutuuka kati bwebatuuse ku buwanguzi mu by’enfuna.
President annyonyodde nti okuddiza abayindi ebizimbe n’amakolero gaabwe kyali kikolwa kya buvunaanyizibwa era nga ky’amakulu, nti kubanga kyali kizibu okusikiriza abasizi b’ensimbi okuva e bunaayira okujja mu Uganda, nga ate balaba ebintu by’abamu ku ba musiga nsimbi byawambibwa.
Jim Mehta, kulwa Mehta group ayise mwebyo Mehta group byezze ekola.
Mehta agamba nti bongeddemu tekinologiya abasobozesa okukola ebintu eby’omulembe era eby’omutindo, neyeebaza government olw’Obutebenkevu obubasobozesezza okukola obulungi.
Omukolo guno gwetabiddwaako ba minister ba Ssaabasajja omubadde Owek Isreal Kazibwe Kitooke, Owek Noah Kiyimba, ba minister mu gavumenti ya wakati, ne bannabyaabufuzi ku mitendera egyenjawulo.
Bisakiddwa: Kato Denis