Kaliisoliiso wa gavument Aisha Naluze Bata awadde abakozi ba gavument 202 nsalesale wa butasukka nnaku zomwezi 30 omwezi ogwokuna okuzaayo ensimbi zebaabulankanya bwekirema bakukwatibwa bavunaanibwe.
Ensimbi eziragiddwa abakozi bano abawerera ddala 202 ziwera obulungi 2 n’obukadde 300 nga zaaweebwa ebitongole mwebakola okubaako emirimu gyebakola ,wabula nebazibulankanya obuweereza nebutatuuka ku bannansi abaali babweetaaga
Bano ebiseera eziyise oluvanyuma lwa Kaliisoliiso okunonyereza,yabalagira bazikwaate bazizeeyo eri eggwanika lyeggwanga..
Wabula ebbanga eryaweebwa abakozi ba gavuneng abo okuzaayo ensimbi ezo zebaanyaga lyagwaako, Kaliisoliiso kwekubawa nsalesale wa nnaku zomwezi 30 omwezi oguggya, bwebalema bagenda kukwaatibwa baggulweko emisango gyobulyake
Ekiwandiiko ekifulumiziddwa offiisi ya Kaliisoliiso kiraze nti waliwo abamu kwaabo ababadde bazayo ensimbi zebaali babba nokubulankanya songa abalala SSI byebaliko,era offiisi ya Kaliisoliiso eyise abo abadde bagezaako okuzaayo ensimbi ezo okugenda ku offiisi ya Kaliisoliiso ngennaku zomwezi 31 omwezi guno, nebiwandiiko ebiraga nti babadde bazizaayo okubyetegereza
Offiisi ya Kaliisoliiso egambye nti terina gwegenda kuttira ku liiso yadde
Abamu kwaabo abaalagiddwa okuzaayo Kavu wensimbi zebaabulankanya kuliko eyali omuteesiteesi omukulu ministry yebyobulimi nobulunzi Pius Wakabi Kasaija, Lewis Paul Ayesiga eyali accountant mu ministry yamasanyalaze nobugagga obwensibo ,Stephen Turyamureeba ayali omubalirizi webitabbo mu ministry yebyobulimi nobulunzi, Bryan Twesigye ne Dr Martin Yefta abeddwaliro lye Kyegeggwa, Fredrick Musika omuyambi wa Accountant mu kitongole kyebisolo hyomunsiko ku UWA, Joel Musisi eyali COA wa district ye Kitgum ne kaabong Kati nga musomesa mu universities ezimu nabalala
Bano balina okuzaayo mu ggwanga lyeggwanga ensimbi Obuwumbi 2 n’obukadde 300 zebaabulankanya.#









