Ng’Obuganda bujaguza emyaka 70 egy’obukulu, Abantu Ssaabasajja Kabaka beyasiima naazimbira ennyumba beyaanza , olw’okubazzaamu essuubi n’okukyusa obulamu bwabwe.
Abaakaweebwa ennyumba bali mu masaza ag’enjawulo, okuli Kooki, Busiro, Kyaggwe, Mawakota n’amalala.
Ennyumba zonna Ssaabasajja Kabaka yasiima neziteekebwako Ttanka y’amazzi ne Kabuyonjo ey’omulembe,ng’akamu ku bubonero obw’okwagaliza abantube ensula ennungi n’ebyobulamu ebirungi mu maka.
Ennyumba zino zaazimbibwa mu nteekateeka y’Omukago n’ekitongole kya Habitat for Humanity Uganda.
Josephina Nabweggamo omutuuze mu Muluka gwe Luwala mu Ggombolora mumyuka Kamengo mu Ssaza Mawokota, yenna ng’essanyu lijula okumutta , yeyanzizza nnyo Kisiikirizekyakatonda olw’ekirabo eky’ennyumba eyomulembe kyeyamuwa.
Nabweggamo musanyu eringi afukamidde ku maviivi neyegayirira omutonzi ayongere Kalemakansiinjo Obulamu era amukwasizza Maama Maria Omutuukirivu.
Nakiganda Margret ow’e myaka 53 ku kyalo Kiryambidde mu Muluka gwe Butoolo mu Mawokota ng’abeera n’abazukulu bataano, agambye nti ennyumba gyebaalina yaali ettonya ekyateekanga obulamu bwabwe mu matigga, naddala abaana abaali batawaanyizibwa ebirwadde wabula olwa Kabaka okubazimbira ennyumba obulamu bwakyuka tebakyalwalalwala.
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II bweyali aweza emyaka 66 mu mwaka 2021, yasiima naazimbira Ruth Nakigudde ennyumba, okuva mu kayumba akaali ak’Ettaka mweyali asula n’Abaana be, ate nga kaali katonnya.
Nakigudde ng’asinziira mu makaage Kabaka geyamuwa ku kyalo Buwagga ekisangibwa mu gombolola ya Ssaabawaali Buikwe mu Kyaggwe, annyonnyode nti okuva Kabaka lwe yasiima naamuwa Ennyumba obulamu bwakyuukira ddala.
Nakigudde ayongedde nategeeza, nti buli lwajjukira Ennyumba mweyali asula n’Abaanabe najjukira Beene gyeyamuggya, yazuula nti Kabaka ddala Maaso mooji, era naasaba abaweddemu essuubi obutaterebuka.
Omwaka guno 2025 Obuganda bwenyumiririza n’okujaguza emyaka 70 egy’amazaalibwa g’Omuteregga aganaakuzibwa nga 13 April,2025.#
Bisakiddwa: Nakato Janefer ne Ssebuliba Julius