Sam Dick Kasolo munnamawulire w’embuga agamba nti ng’akyali muvubuka, yasooka okusisinkana Muzzangoma mu mwaka ogw’e 1987 ng’akyali Ssaabataka, baali ku mupiira gw’Ebika e Nakivubo, olwo nno emboozi n’etandika okukwajja.
Mu mboozi ey’akafubo n’Omumbejja Lwantale era Omulongo Nakato Jennifer, Muzzukulu wa Walusimbi ono Sam Dick Kasolo, akinogaanyizza nti okuweereza Maasomoogi kumutuusizza ku birungi bingi, era kwamutuusa okulekulira ku Radio Uganda ne UTV gye yali akolera ogw’okusaka amawulire.
Ekyaddirira kwe kulondebwa ku lukiiko lw’abavubuka, era okuweereza Obuganda bwe kwamunyumira, ogw’amawulire ku Radio Uganda n’agusuulawo.
Agamba ng’ebula emyaka 2 Magulunnyondo atuuzibwe ku Nnamulondo e Naggalabi, awo mu 1991, omuziraffumbe ono Sam Dick Kasolo ng’agwa mu bintu, anti Nnamunswa yasiima n’amulonda nga munnamawulire we n’okutuusa kati.
Ekyaddirira Bukaajumbe yasiima ye Kasolo ne banne ne bagenda beeyanza obwami mu Lubiri lwe e Bbanda.

Omutaka Kasolo akinogaanyizza nti teyejjusa kuweereza Kabaka we, era yeeyanzizza nnyo Ssekkesa gw’ayogeddeko nti Musaasizi, ayagaliza era bw’aba ayagadde omuntu amwagala n’Omutima gwe gwonna.
Akinogaanyizza nti nga Nnyininsi ajaguza amazaalibwa ge ag’emyaka 70, yeenyumiriza mu kubeera munnamawulire wa Kabaka, kubanga naye amwagala ng’omuntu ate amuyigiddeko bingi, era n’amusabira Omutonzi amuwangaaze.
Bisakiddwa: Nakato Janefer