Ekitongole kya Kabaka Foundation kitongozza olusiisira lw’ebyobulamu olugenda okumala ennaku 2 mu Ssaza Busiro mu Gombolola ya Ssabagabo Nsangi ku St Joseph’s Catholic Church Kyengera.
Lugguddwawo Omumyuka owokubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda Owek Rotarian Robert Waggwa Nsibirwa.
Ssabasumba w’essaza ekkulu era Kampala Bishop Paul Ssemogerere agamba nti government ekyalina omulimu munene okutuusa obujjanjabi ku bantu , ng’eteeka eddagala eryegasa n’abasawo mu malwaliro.
Super Supreme Mufti Sheik Muhammad Galabuzi asinzidde ku mukolo guno naasaba government okubeerako ne byeyigira ku Kabaka atadde amaanyi kukujjanjaba abantu, okutuukira ddala wansi mu byalo.
Omulabirizi w’e Namirebe Moses Banja yeyanziza nnyo Ssaabasajja Kabaka olw’okusoosowaza ensonga z’ebyobulamu era asabye abantu okwekebezanga.
Minister w’ebyobulamu mu bwakabaka Owek Cotilda Nakate Kikomeko agamba nti ensiisira zino zikolebwa nga zisimbibwa mu ssemasonga wa Buganda eyokuna, 4 ey’okukulaakulanya abantu n’okubakuuma nga balamu bulungi era bakugenda mu maaso n’enteekateeka nga zino.
Bisakiddwa: Nakato Janefer