Ekitongole kya Kabaka Foundation ne Uganda Breweries Ltd bazimbidde abatuuze ababeera mu bitundu by’emigotteko e Namuwongo mu Kampala kabuyonjo ey’omulembe.
Kabuyonjo eno egguddwawo omumyuka owookubiri owa Katikkiro wa Buganda Owek Waggwa Nsibirwa ne Julian Kaggwa omukungu okuva mu Uganda Breweries Ltd.
Owek Waggwa yebazizza Kabaka Foundation olw’okukyusa obulamu bw’abantu.
Asabye abatuuze okukuuma ekifo kino nga kiyonjo, okwewala endwadde.