Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye naasimbula emisinde mu bunabyaalo egy’amazaalibwage ag’emyaka 70 mu Lubiri e Mengo, wakati mu nnamutikkwa wenkuba afudembye.
Empologoma etuuse mu Lubiri ku ssaawa emu yennyini, era neesiima neesimbula Abaddusi, kubaddeko aba kilomita 21,10, ne 5.
Ekigendererwa ky’emisinde Gino egyomulundi ogwe 12 kwekulwanyisa Mukenenya ng’abasajja bebasaale.


Ccucu Musota Ssekkesa asiimye naasiibula okuva mu kifo wesiimbulidde emisinde mu Lubiri.

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yebazizza abantu ba Beene olw’obuvumu bwebakozesezza nebeeyiwa mu Lubiri mu bungi ddala, wakati mu kire ky’enkuba ekikedde okufudemba, era neyebaza n’abantu abalala bonna abaddukkidde mu bitundu by’ensi ebyenjawulo.
Katikkiro era abasabye Obutakoowa kulwanyisa Mukenenya.

Ssentebe w’Olukiiko olutegese Emisinde era Omumyuuka asooka owa Katikkiro Owek Hajji Dr Prof Twaha Kawaase Kigongo, yebazizza abantu ba Beene Olwomukwaano gwebalaze Empologoma.

Minister w’Abavubuka ebyemizannyo n’Ebitone Owek Robert Sserwanga Ssalongo, agambye nti ebiruubirirwa byemisinde bigenda kituukirira, neyeebaza Abavubuka Okwaagala Kabaka n’obulamu bwabwe.

Uganda AIDs commission ekola ekisoboka okukebera abantu ka Kabaka Mukenenya, era n’emisinde gya Kabaka gwe mulamwa kwegitambulidde, abaami mubeere basaale okulwanyisa siriimu nga mutaasa omwana omuwala.
Emisinde Gino giwagiddwa Airtel Uganda, I&M Bank,CBS,BBS Terefayina, UNICEF,Vision group, Daily Monitor,Nivana nabalala.
Ssaabasajja Kabaka awerekeddwako Nnaalinnya Lubuga Agnes Nabaloga, Abalangira n’Abambejja.
Omukolo guno gwetabiddwako Bajjajja Abataka abakulu b’Obusolya, ba minister ba Ssaabasajja abaliko naabo abaawummula, Bannaddiini, bannabyabufuzi ,Amatendekero, Amasomero n’Abantu kinoomu.#
Ebifaananyi: MK Musa