Emisinde gy’amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi ll egy’emyaka 68 egiddukiddwa mu Canada, gikomekkerezeddwa mu mirembe.
Gitambulidde ku mulamwa ogw’o kulwanyisa Mukenenya.
Emisinde gino egibumbujjidde mu kibangirizi kya Marie Curtis Park Ontario mu Canada, gibadde gya buwanvu bwa kilo mita 5, era gyetabiddwamu abakulu n’abato.
Minister omubeezi owa government z’ebitundu era nga yavunaanyizibwa ku bantu ba Beene abali ebweru wa Buganda Owek Joseph Kawuki, agambye nti ekinyusi ky’Okudduka emisinde gy’amazaalibwa g’Empologoma kwekulaba ng’abantu ba Kabaka babeera balamu olwo basobole okwekulaakulanya.
Emisinde gino nga teginnatandika, wabaddewo ensiisira z’ebyobulamu ezenjawulo n’Okusomesa abantu ba Kabaka ku Mukenenya okukulembeddwamu Omusumba Eddy Jjumba n’Omukyala Sandra Kyagaba, era beebazizza Maasomooji olw’okulwanirira abantube entakera.
Owek.Kawuki era atongozezza enteekateeka y’okusomeseza awamu abaana abali e Canada olulimi Oluganda n’obuwangwa bwa Buganda.
Omubaka wa Ssaabasajja atwala essaza Canada Owek Estella Muyinda agambye nti emisinde gino gyongedde okujjumbirwa, neyeebaza Empologoma olwa kaweefube assiddwawo okukuuma abantube nga balamu.
Annyonyodde nti emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka ejaddukibwa mu Buganda n’ebitundu ebirala okwetoloola ensi yonna nga 16 April,2023, mu Canada waaliyo obutiti bungi abaayo tebaasobola kudduka kwolwo, kwekujoongerayo okutuusa leero.
Ssenkulu wa Kabaka Foundation Omuk Eddy Kaggwa Ndagala naye yetabye ku misinde gino, neyebaza abantu kinoomu n’ebitongole ebivujjirira emirimu gy’Obwakabaka, era naabasaba obutaddiriza.
Bisakiddwa: Kato Denis