Munnauganda Omuddusi w’embiro empanvu ku mutendera gwénsi yonna Joshua Cheptegei, azeemu okuwangulira Uganda omudaali gwa zaabu mu misinde gya mita omutwalo gumu( 10,000 ) mu mpaka zénsi yonna eza Olympics.
Empaka za Olympics 2024 ziyindira mu kibuga Paris ekya Bufalansa.
Joshua Cheptegei emisinde gino agiddukidde eddakiika 26:43:14, náwangulira Uganda omudaali ogusoose mu mpaka za Olympics 2024.
Joshua Cheptegei era ataddewo record empya eyókuddukira emisinde gino omutwalo ogumu obudde obutono ddala mu mpaka za Olympics.
Amenyewo record ya munnansi wa Ethiopia Kenenisa Bekele gye yali yatekawo mu 2008 e Beijing China eyédakiika 27:01:17.
Munnansi wa Ethiopia Berihu Aregawi akutte ekifo kyakubiri nawangula feeza, nga emisinde gino agiddukidde edakiika 26:43:44.
Munnansi wa America, Grant Fisher akutte ekifo kyakusatu náwangula omudaali ogwékikomo, nga emisinde gino agiddukidde edakiika 26:43:46.
Omuddusi omulala munnayuganda Jacob Kiplimo akutte ekifo kya 8.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe