President w’ekibiina ki National Economic Empowerment Dialogue (NEED), Joseph Kabuleta, yekubidde enduulu mu kakiiko k’ebyokulonda, ayagala kamuddiremu awandiisibwe avuganye ku kifo kya president wa Uganda omwaka ogujja 2026.
Kabuleeta agamba nti yaleeta emikono egimusemba okwesimbawo nga 12 September,2025, wabula oluvannyuma nebamutegeeza nti gyali gibulako.
Annyonyodde nti yaddamu naanoonya emikono emirala, wabula ekyamuggya enviiri ku mutwe, bwebutalabikira ku lukalala lw’abaali bagenda okusunsulwa.
Kabuleeta agamba nti ku lunaku lw’okusunsula lwennyini kwebaamutegeereza nti emikono gyeyajja e Masaka gyali gibulako emikono 9
Agamba nti enteekateeka eno yalimu kyekubiira, nga kati ayagala akakiiko kaddemu kekenneenya byonna byeyatwalayo basobole okumusunsula avuganye.
Akakiiko k’eby’okulonda aka The Electoral Commission of Uganda kaasunsudde abagenda okuvuganya ku bwa president bwa Uganda nga 23 ne 24 September,2025.
Abantu 8 bokka bebaasunsuddwa, ku basoba mu 40 abazaayo emikono egibasemba, wadde ng’abaggyayo empapula baasoba mu 180.
Abaasunsuddwa nga batuukirizza byonna ebyabasabibwa bali 8 okuli munnaNRM Yoweri museveni Kaguta ,munnaFDC Nathan Nandala Mafabi ,munnaNUP Robert Kyagulanyi Ssentamu, ne munnaANT Gregory Mugisha muntu.
Abalala ye munnaCommon man’s party Mubarak Munyagwa, owa Conservative Party Elton Joseph Mabiriizi, owa Revolutionary People’s Party Bulira Frank Kabinga ne Kasibante Robert owa National Peasants Party.













