Olwa leero abakristu bakuza olunaku lw’okunyeenya amatabi, Yesu lweyayiingira mu kibuga Yerusaalemu mu kitiibwa, ng’abantu bwebamunyeenyeza amatabi g’emiti n’okusaakaanya ennyimba eziteendereza Omutonzi;
Hossana! Hossana! oyo ajja mu linnya ly’omukama
Ssabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala Paul Ssemogerere olunaku luno lwerutandika ssabbiiti entukuvu etuusa abakkiriza ku lunaku lw’amazzuukira, era lwelunaku olw’okununula kw’abakkiriza okuva mu kibi.
“Ku lunaku luno Kristu tumunyeenyeza emitima gyaffe ajifuge”
“Atukubiriza okwagalaAnga bantu bannaffe awatali kusosola” Ssaabasumba Ssemogerere