Abakungu ba kampuni ya China enzimbi y’amayumba Henan Gwoji enzimbi yámayumba bakiise embuga, nebasaba obwakabaka bubongere ettaka okuzimba amayumba agébbeeyi ensamusaamu.
Kampuni eno yeyazimba ennyumba eza Mirembe Villas e Kigo ne Mirembe estates e Ssentema mu Busiro.
Katikkiro Charles Peter Mayiga abasuubizza nti obwakabaka bwalwomgera okubawa liizi okuzimba amayumba amalala, era n’akubiriza abantu ba Buganda okufuna amayumba agateekeddwateekeddwa obulungi okuva mu kampuni eno.
Ssentebe wa Henan Gwoji Sheng Tongshan agambye nti betegefu okwongera okusiga ensimbi mu mayumba agómulembe e Kigo, Sentema ne mu kibuga wakati, n’okuzimba industrial park e Sentema abantu ba Kabaka bongere okufuna emirimu.
Kampuni eno yakamala emyaka Mwenda ngékolagana n’obwakabaka.
Bisakiddwa: Naluyange Kerren