Omusuubuzi Hamis Kiggundu apondoose n’akkiriza okuva ku ttaka lya Ssaabasajja Kabaka erisangibwa e Kigo ku bbulooka No. 273.
Ettaka lino liri wakati wa Serena Kigo n’ennyumba za Mirembe Villas.
Kiggundu okusalawo okuva ku ttaaka lino, asoose mu nsisinkano eyenjawulo ekubiriziddwa Omulangira David Kintu Wassaja, etudde ku kizimbe Masengere.
Abalala abagyetabyemu kuliko Ssaabawolereza wa Buganda era Minister wa government ez’ebitundu Owek. Christopher Bwanika ,abakulu mu kitongole kya Buganda Land Board ,Ssentebe wa Bagagga kwagalana Godfrey Kirumira ,Hamis Kigundu n’abantu be.
Ensisinkano eno tekkiriziddwamu bannamawulire era etutte kumpi essaawa ezisoba mu mukaaga.
Oluvannyuma lwa kafubo kano, Ssaabawolereza wa Buganda Owek Christopher Bwanika abuulidde bannamawulire ku bitonotono ebituukiddwako.
Hamis Kiggundu alagiddwa okugyawo ettaka lyeyayiwa mu ttaka lya Kabaka ,era nti Obwakabaka bwakugenda mu maaso okwogerezeganya naye okutuusa ensonga yonna ng’ettaanyiziddwa.
Ssentebe wa bagagga kwagalana Godfrey Kirumira ategezezza nti akafubo kebabaddemu katambudde bulungi , era nti Hamis Kiggundu wakwetondera Ssaabasajja Kabaka.
Hamis Kigundu abadde yatwala ettaka lya Kabaka asinzidde ku Kizimbe Masengere e Mengo, nategeeza nti ettaka lya Kabaka siwakuddamu kukolerako kintu kyonna.
Omugaga Hamis Kigundu abadde yakozesa olukwesikwesi nayiwa ettaka mu mufulejje ogwalekebwawo obwakabaka, okutambuza amazzi wakati wa Mirembe Villas ne Serena Kigo.
Kino yakikola akuumibwa abasirikale ba police n’amagye ng’agamba nti ettaka lino lirye bwoya, alirinako n’ekyapa ,ekintu obwa Kabaka kyebwawakanya .
Owek. Christopher Bwanika agambye nti ensonga z’ettaka lino kati zirina wezituuse era basuubira zakuggwa bulungi.