Ekibiina ekitwala abayimbi mu ggwanga ki Uganda National Cultural center kiyise abayimbi Gravity Omutujju ne Lil Pazo bewozeeko ku nnyimba ez’Obuwemu nebatalabikako, olwo nekiyisa ebiragiro 3 eri ababiri bano.
Kisaliddwawo nti ababiri bano sibakukkirizibwa kuyimbira wantu wonna mu Uganda era Police ekwasiddwa obuvunanyizibwa obwokussa ekiragiro kino mu nkola.
Ennyimba zonna ez’Obuwemu zebayimba zigenda kusiimuulwa ku mitimbago na buli wantu wonna weziri, era anaasangibwa nga azikuba wakuvunanibwa mu mbuga z’amateeka.
Promoter yenna anategeka ekivulu omuli ababiri bano tajja kuddamu kuweebwa bbaluwa emukkiriza kukola kivulu kyonna, era police ekkirizza Okuteeka mu nkola ebiragiro bino.
Ate bino webigyidde nga Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga naye kyajje atabukire abayimbi ne bannakatemba abasusse okuwemula nga beriimbika mu nnyimba, era naye alagidde ennyimba z’ababiri abo eziwemula obutaddamu kukubwa ku radio ne TV y’Obwakabaka.