Enkola y’okulondoola ebikwata ku ttaka etuumiddwa THE PUBLIC PORTAL OF UGANDA’S NATIONAL LAND INFORMATION SYSTEM, etongozeddwa ku wofiisi y’ebyettaka e Wakiso.
Enkola eno yakuyamba omuntu okuyita ku computer oba ku ssimu yomungalo okuli internet, okukebera ekintu kyonna ekikwata ku ttaka, ng’asinziira yonna gyali.
Etongozeddwa omuteesiteesi omukulu mu ministry y’eby’ettaka Dorcus Okalane.
Agambye nti enkola eno yakuyambako okukendeeza obunyazi n’obufere obukolebwa ku ttaka mu bitundu eby’enjawulo.
Agambye nti bakola butaweera okulaba ng’abantu abali mu bifo awatali byapa babifuna, okufuna obwannanyini obwenkomeredde.
Oonyo Lenin Victor akulira ebya tekinologiya mu ministry y’ebyettaka mu ggwanga akaattiriza nti enkola eno yakumalawo obufere obubadde buyittiridde ,obuviriddeko bannauganda okufiirwa ensimbi zabwe .
Wabula mu mbeera eno ssentebe wakakiiko keddembe lyobuntu mu Wakiso Elly Kasirye asabye government nti mu kiseera kino etandise okuteeka ebintu ebisinga obungi ku mitimbagano, n’asaba government erowooze ku nsonga y’okukendeeza ku miwendo gya internet okwanguyiriza omuntu wabulijjo.
Amyuka omubaka wa President mu Wakiso Muwanga Lutaaya asabye aba ministry y’ebyettaka okuteeka enkola eno mu nnimu ennansi.
Bisakiddwa: Tonny Ngabo